ZUNGULU: Bibiino eby’asusse okusesa mu Ssekukkulu
Ebifo ebikyakalirwamu ku ssekukkulu byakubyeko ng'oyinza okulowooza nti ne Maria gye yajagulizza okuzaala omwana. Abantu banywedde omwenge okubula okukooya abagunda n'abamu nebatuuka ng'ennimi tezikyasituka. Omwenge era gwasitudde ebitone bingi mu banywi wabula ng'eky'okuyimba kyakutte kisooka.