ULITU SACCO y’emu ku yafunye ssente okuva ewa Museveni
Ozze owulira nga abasomesa balaagyanira omukulembeze w'eggwanga abeeko engeri gyabayamba okwekulaakulanya. Okusaba kwabasomesa omukulembeze w'eggwanga yakwanukudde bweyawadde ebibiina by'abasomesa ebyenjawulo obwumbi 20 nga zaakussibwa mu SACCO zaabwe. Ekimu ku bibiina ebifunye ku ssente zino kye Ki Uganda Liberal Teachers' Union , nga kyaweereddwa obuwumbi mukaaga no bukadde lukaaga (6.6billion). Abatwala ekibiina kino bagamba nti ssente zino zaakuwolwa abasomesa abalina kyebeetandikiddewo okusobola okugaziya ebyenfuna byabwe.