ZUNGULU : Ensangi zino bw'osanga awali abakumye olumbe topapa kugendawo
Ensangi zino bw'osanga awali abakumye olumbe topapa kugendawo ng'olowooza nti muntu ye yafudde! Waliwo abatandise okukuma ennyimbe ez'okuziika ebibiina byabwe eby'obyobufuzi bye balowooza nti tebisaanye kutuuka mu kalulu ka 2026, nga batuulira ddala nebanakuwala nga abaviriiddwako omwagalwa. Ogenda nakulaba abasamize bwe baasabidde abaana abaddayo ku masomero omukama manya lubaale ababeere nga bagenda okutandika okukwata ekkalaamu.