Ab'e Mityana basanyufu oluvanyuma lw’okufuna emmererezo y’emmwanyi ez’omulembe
Abalimi b’emmwanyi e Mityana basanyufu oluvanyuma lw’okufuna emmererezo y’emmwanyi ez’omulembe. Emmererezo eno etandikiddwawo aba National Coffee Research Institute oluvanyuma lw’okutta omukago n’aba Kisoboka abasimbye amakanda mu kitundu kino. Kino bagamba kya kuyambako okulima emmwanyi ez’omulembe mu kitundu kyabwe.