Abakulembeze ba gavumenti ez'ebitundu basabye ensonga ya kasasiro eteekebweko essira
Abakulembeze ba gavumenti ez'ebitundu balowooza ensonga ya kasasiro esaanidde okussibwako essira mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka ogujja kisobozeseze ebibuga ne munisipaali okugonjoola ekizibu kya kasasiro mu bitundu byabwe.Mu lukungaana olukwata ku mpeereza eri bannansi oluyindidde mu Kampala, abakulembeze bagamba mu kiseera kino abaddukanya ebibuga ne munisipaali tebalina busobozi bumala kwekolera ku nsonga ya kasasiro.