Abatuuze e Lungujja Kosovo basobeddwa olwa munaabwe ayagala okuziba oluzzi lwabwe
Abatuuze mu zooni ya Sendawula e Lungujja Kosovo basobeddwa olwa munaabwe ayagala okuziba oluzzi lwabwe. Bagamba oluzzi luno lumaze emyaka nga kwebasena amazzi nga bewuunya ate munnaabwe okwagala okuluziba. Abatuuze bagezezzaako okumuyita munnaabwe ayagala okujjawo oluzzi luno abannyonnyole naye talabiseeko.