Gav't erangiridde nga vanilla bwali ow'okunogera emyezi esatu sizoni eno
Minisita w’eby’obulimi Fred Kyakulaga Bwino ategeezeza nga sizoni eno Vanilla bwajja okukungulwa okutandika nga ennaku z’omwezi 27th December 2024 okutuukira ddala nga 27 mu gw’okusatu gw’omwaka ogujja. Kino bakikola okwewala abakungula vanilla nga muto mukaweefube w’okutangira abamubba.