Abaana ab’obuwala basanga okusoomozebwa okwenjawulo mu disitulikiti y’e Ssembabule
Abaana ab’obuwala basanga okusoomozebwa okwenjawulo mu disitulikiti y’e Ssembabule bangi nebasalawo okufumbirwa nga tebannetuuka oluvanyuma lw’okumalako ekibiina eky’omusanvu. Abatuuze bagamba obuzibu buva ku bbula ly’amasomero ga siniya mu disitulikiti eno nga agalimu gabalirwa ku ngalo. Kati okulwanyisa embeera eno gav’t etandise eddimu ly’okusimba siniya eya SEED mu ggombolola y’e Lugusuulu nga mu ggombolola eno temuli somero lya siniya lyonna yadde ey’obwannanyini.