Okutulugunya abakazi kweyongedde
Minisitule evunaanyizibwa ku kikula ky’abantu eraze obwenyamivu olw’engeri abantu naddala abasajja gyebayongedde okutulugunya abakayala mu ngeri ez’enjawulo ekyongedde obutabanguko mu maka. Bagamba nti kati bano baguddewo omuze gw’okutulugunya abakyala baabwe mu birowoozo. Bino byogeddwa mu lukung’aana olukubiddwa ku kitebe kya Sauti Help line ekirwanirira n’okutaasa abatulugunyizibwa e Kireka mu divison y’e Nakawa mu Kampala.