Abatuuze e Nansana bagudde ku mulambo gwa munnaabwe
Abatuuze b’e Nabweru South mu gombolola y’e Nansana baguddemu ekyekango, bwebagudde ku mulambo gwa mutuuze munnaabwe eyabula enaku 3 emabega. Omulambo gwe gusangiddwa mu kifulukwa ekyalegamamu amazzi. Abatuuze bagamba bamunoonyeza buli wamu nga kwotadde n’okumulanga naye nga buteerere - kati bagamba nti ono yandiba nga yatiddwa buttibwa.