Ettaka ly'eddwaliro e Mpigi, ssentebe olumye n'ogwengulu
Ssentebe wa disitulikiti y’e Mpigi Martin Ssejjemba aweze okuluma n’ogw’engulu obutakkiriza bannakigwanyizi abaagala okubba ettaka ly’eddwaliro erya Mpigi Health Centre IV. Ono olwaleero alambudde ettaka ly’eddwalir lino eryagalwa okutwalwa abannakigwanizi nga ali wamu n’olukiiko lwe olufuzi nga kwotadde n’abakulira eddwaliro lino. Ategeezeza nti wadde omuntu yenna alina ekyapa ku ttaka lino kyakusazibwamu.