NIRA tekiriza obufumbo obw'ebifaanayi mu mateeka
Ekitongole ki National Identification & Registration Authority [NIRA] ekivunaanyizibwa kukuwandiisa obufumbo balabudde abantu abegumbulidde omuze gw’okufumbiriganwa mu bifaananyi kyebagamba nti kyabulabe nga ne mumateeka obufumbo buno tebumanyiddwa. Okwogera bino bano babadde basisinkanye abantu ab'enjawulo n'okusingira ddala bannaddiini okubasomesa ku nkola y'okuwandiisa obufumbo okuva ekitongole ekyali kibuvunaanizibwako ki Uganda Registration Service Bureau [URSB] okugattibwa ku NIRA. Kino bannaddini bakisanyukidde kyokka nebasaba wabeewo ezimu ku nnongoosereza ezikolebwa mu mateeka agamu ag'okuwandiisa obufumbo.