Abakulembeze ba NUP e Kira batandise ku kaweefube w’okununula bannakibiina abaakwatibwa
Abakulembeze ba NUP e Kira bategeezeza nga bwebatandise ku kaweefube w’okununula bannakibiina bonna abaakwatibwa ku ntandikwa ya sabiiti ewedde wakati mukavuvung’ano omukulembeze w’ekibiina kino Robert Kyagulanyi Ssentamu akaaliwo e Bulindo mu munisipaali y’e Kira.
Okusinziira ku meeya wa munisipaali eno Julius Mutebi, waliwo abamu bebaasobode okweyimirira era nebateebwa nga kati bali mukaweefube w’okulaba nga n’abalala bateebwa.
Bano babade basisinkanye akulira NUP mu maka g’e Magere okumusaasira kwebyo ebyamutuusibwako - ne bannakibiina kino okuva e Masaka nabo bamukyaliddeko.