Abantu 55 beebaafiiridde mu nnaku za ssekukkulu eno
Poliisi etegeezeza nga obuzzi bwémisango mũ nnaku za sekukulu wómwaka guno bwebutaabadde bwamaanyi bwogeraageranya nga bwegwali omwaka oguwedde. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi kituuma Lusoke, omwaka guno abantu 55 beebaafudde , mu misango 91, egyazzibwa, okwawukanako kwejo 110, ejazzibwa omwaka oguwedde. Poliisi egamba yakwongera okunyweza ebyókwerinda ne mubikujjuko ebiddako.