Abatuuze b’e Buyende bali mukusagambiza olw’ekidyeri ekisuubirwa okutandika okukola omwezi ogujja
Abatuuze b’e Buyende bali mukusagambiza olw’ekidyeri ekisuubirwa okutandika okukola emirimu gy’okusaabaza abantu ku ntandikwa y’omwezi ogujja. Bagamba kino kigenda kutumbula eby’obusuubuzi, eby’entambula n’okukulaakulanya ekitundu kyabwe. Ekidyeri kino kyatongozebwa mu mwezi ogw’omunaana ku nyanja Kyoga nga kati bali mukukola ebisembayo kitandike okusaabaza abantu.