Gav't ne Bbanka y'ensi yonna bali mu nteekateeka ey'okuzimba obutale bubiri obw'omulembe e Mpigi
Gavumenti ya Uganda ng'eyambibwako Bbanka y'ensi yonna erina enteekateeka y'okuzimba obutale bubiri obw'omulembe e Bujuuko ne Nakirebe mu disitulikiti y'e Mpigi. Omulimu guno tutegeezeddwa nga bwegukyesibye lw’ebbula ly’ettaka nga ne disitulikiti terina ttaka lyayo. Kati obumulumulu bwonna abakulu basala ntotto butya bwebanaabumalawo batandike okuzimba era basazeewo kufuna lease.