Bannanyini nyumba eziri mu katale k’e Bugoloobi ne Nakawa basabye gavumenti okubaliyirira
Bannanyini nyumba eziri mu katale k’e Bugoloobi ne Nakawa basabye gavumenti okubaliyirira mu kaseera kano nga baagobwa dda mu nyumba zabwe ku kiragiro kya Pulezidenti. Bagamba webutuukidde olwaleero nga tebakyasobola kusolooza ssente mu nnyumba zebeezimbira, ekitadde obulamu bwabwe mu mbeera y’okwennyamira. Bano babadde basisinkanye n’abakakiiko ka Palamenti akakola ku nsonga z’obwa pulezidenti abali mu kulambula obutale bwa KCCA okulaba embeera gyebulimu.