Banaddiini basabiddwa okweyisa obulungi n'okulaga omukwano eri abantu bebaweereza
Banaddiini basabiddwa okweyisa obulungi n'okulaga omukwano eri abantu bebaweereza kisobozese okuzza essuubi mu bantu n'okwagala Katonda. Okusaba kuno kuvudde muba Nazareth ababadde babakyalidde mu bulabirizi bw’e Muhabura, Kigezi ne South Ankole Diocese. Banaddiini ab’enjawulo okuviira ddala ku ba Bishops baweereddwa ebintu eby’enjawulo omuli ebyambalo, emmere ey'omwoyo gyiyite Woositiya n’enviinyo kko n’ebirala.