Omuntu omu afiiridde mu kuyigulukuka kw’ettaka mu nsozi za Rwenzori
Omuntu omu y’afiiridde mu kuyigulukuka kw’ettaka mu nsozi za Rwenzori e Kabarole oluvanyuma lw’enkuba eyafudembye ekiro ekyakeeseza olwaleero. Enkuba eno yalese eyonoonye enyumba z’abantu, ennimiro, n'enguudo ez’enjawulo mu disitulikiti z'e Kabarole ne Bunyangabu. Abakulembeze mu kitundu kino balabudde abantu abawangalira mu bitundu by'ensozi okugira nga babyamuka.