Abatuuze be Bukomansimbi bagala Joel Ssenyonyi yetondere Veronica Nanyondo
Abatuuze saako n'abakulembeze mu district ye Bukomansimbi balabudde akulira oludda oluwabula gavumenti mu Palamenti Joel Ssenyonyi okuvaayo bunambiro yetondere Omubaka wabwe Veronica Nanyondo gweyatyoboola ku nkomerero ya sabiiti ewedde. Kinajjukirwa nti Joel Ssenyonyi yasinziira mu kuziika Jajja wa akulira ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Aidah Kyosimbaonanya e Kawoko -Butenga e Bukomansimbi naayambalira Omubaka Nanyondo ku by'okugyayo omukono ku nsonga yokugoba Kamisona wa Palamenti Mathias Mpuuga Nsamba.