Amatikkira ga Kabaka aga 31: Enteekateeka ziwedde e Namirembe
Enteekateeka z’amattikira nga Ssaabasajja oyinza okugamba ziwedde anti emisana wonna basiibye bateekateeka lutikko y’e Namirembe awagenda okuba amatikkira gano ag’omulindi gwa 31.Abagenyi basuubirwa okutuuka okutandika saawa bbiri ez’okumakya.Abantu ba Buganda basabiddwa okwetaba ku mukolo guno, byo eby’okwerinda biri gulugulu.