Baziwe Foundation edduukiridde amaka g’abaana abaliko obulemu e Nansana
Baziwe Foundation nga kibiina kyabwannakyewa badduukiridde amaka g’abaana abaliko obulemu aga Doreak Childcare Uganda agasangibwa e Nansana n’ebintu eby’essava abaana bano nabo basobole okuyita mu gandaalo ly’ennaku enkulu. Okusinziira ku akulira ekitongole kino Denis Mukasa Baziwe abaana kika kino beerabirwa nyo mu biseera nga bino ekibawaliriza okubaduukirira. Ono era agamba wakyaliwo abazadde abakyasosola abaana ekikula kino ate abalala nebatuuka n’okubakweka ekyongera okubennyamiza - wano wasabidde buli muntu sekinoomu okusitukiramu okulaba nga abaana b’ekika kino tebasosolebwa bayisibwe nga abaana abalala.