Wuuno omukyala asobeddwa oluvanyuma olw'omwana we okuzuulibwa nga alina ekituli ku mutima
Mariat Zalwango nga mutuuze w'e Katooke e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso yali mukusoberwa olw'omwana we Rahimah Nampeera okuzuulibwa nga alina ekituli ku mutima. Mu ddwaliro ekkulu e Mulago bamutegeeza nga bweyetaaga obukadde 18 asobole okulongoosebwa, omwana ono wa myaka munaana. Kati asaba abazira kisa okumudduukirira.