Aba NUP basabidde Frank Ssenteza eyali omukuumi wa Robert Kyagulanyi
Bannakibiina ki National Unity Platform bakedde kweyiwa ku Lutikko ya Our lady of Sorrows e Kitovu mu kusabira omugenzi Frank Ssenteza eyali omukuumi wa pulezidenti w’e Kibiina kino Robert Kyagulanyi Ssentamu eyatomerwa emmotoka y'amagye mu mwaka gwa 2020 n’emuttaka mukuwenja akalulu k’obwa pulezidenti. Kumulundi guno ab’eby’okwerinda tebataataganyiza nteekateeka ya bannakibiiba kino nga bwegutera okuba - eno Fr. Andrew Kyamufumba akuliddemu okusaba awanjagidde banna NUP okugenda mu maaso n’okulwanirira eddembe ly’obuntu wakati mu kunoonya obuweereza.