Michael Kabaziguruka alangiridde nti waakuddamu okwesimbawo e Nakawa
Eyaliko omubaka w’eggombolola ye Nakawa Micheal Kabaziguruka ea nga ye yawaaba omusango kkooti ensukkulumu gwe yawadde ensala olunaku lw’egggulo agamba nti kati essira wakuliteeka ku kuweereza bantu ba bulijjo. Ono era alangiridde nti waakuddamu okwesimbawo ku kifo ky’omubaka wa Nakawe East mu kalulu ka bonna aka 2026 okusobola okutuukiriza enteekateeka ye obulungi. Kabaziguruka agamba nti ekisanja kye ekya 2016 okutuuka 2021 yakimalira mu kkooti ekyatataaganya obuweereza bwe eri abantu.