Poliisi mu Kampala n’emiriraano etegeezezza nga Ssekukkulu bweyatambudde obulungi
Poliisi mu Kampala n’emiriraano etegeezezza nga Ssekukkulu bweyatambudde obulungi era tewali mbeera yeraliikiriza yalabiddwako esobola okutaataganya eby’okwerinda. Patrick Onyango nga ye mwogezi wa poliisi mu Kampala ategeezeza nga bwewaliwo abantu abasukka mu 260 abaakwatiddwa mu bikwekweeto eby’enjawulo. Wabula nga bano abasinga baakwatiddwa mu bivvulu.