Enyumba z’abatuuze e Kansanga zimenyeddwa nga NEMA ekola ekikwekweto ku bazimba mu lutobazi
Ekitongole ekirwanirira obutonde bw'ensi ki NEMA kikedde kukola kikwekweto ku bantu abeesenza mu lutobazi lwa Kitalanga e Kansanga mu ggombolola y’e Makindye. Bano bamenye buli kyebasanze mu lutobazi luno omubadde n’enyumba eza kalina. NEMA egamba erabudde abantu bano kyoka nga tewali yenyenya.