E Bulambuli basula bakukunadde olw’ekitundu kyabwe okufuna enjatika
Abatuuze mu gombolola y’e Simu mu disitulikiti y’e Bulambuli basula bakukunadde olw’ekitundu kyabwe okutandika okufuna enjatika ez’amaanyi mu ttaka ekibatadde ku bunkenke nti ettaka lyandibabuutikira akadde konna. Mu bikoseddwa mwe muli n’esomero li Bugibologoto Primary School ssaako n’eddwaliro. Kati bano bali mu kaweefube wa kumatiza bantu okwetegula ekifo.