E Mubende abakulu b'esomero basobeddwa lwa nsimbi
Abaddukanya essomero li Mawujjo Church Of Uganda primary school e Mubende bali mukwebuuza wa ensimbi ezaayisibwa obukadde 28 okudaabiriza ekizimbe ku ssomero lino gyezaalaga.
Bano bagamba disitulikiti yayisa ensimbi zino omwaka gw’eby’eby’ensimbi oguwedde 2023/24okudaabiriza ekizimbe ku somero lino naye nabuli kati bebuuza wa ensimbi zino gyezaalaga kuba tewali kizimbe kyonna kyaddaabirizibwa.
Akulira eby’enjigiriza e Mubende ategeezeza nga ensimbi zino bwezakola ku kizimbe ekirala ku somero lino wadde nga abalikulira bakalambira nti tewali kikoleddwa kyona ku somero lino omwaka gw’eby’ensimbi oguwedde.