Ebyokoola birumbye abatuuze e Jinja
Abatuuze ku kyalo Nabukosi e Jinja kata bagajambule omutuuze munnaabwe nga bamulanga kuleeta ebigambibwa okubeera ebyokoola ebibamazeekko emirembe . Nga bakolagana ne poliisi baleese omuganga okubikwata kyoka mbu ate gwe baleese alya enguzi era ebyokoola ne bigaana okugenda. Ebyokoola bino bikuba abaana wamu n’okulumba abatuuze mu kiro. Wetuviiriddeyo nga basala ntoto kuleeta mugana mulala enkya.