EMYAKA 5 EGYA AGAFA EYO : Baabano abagakusomera mu lulimi olw'obubonero
Mukutumbula eby’empuliziganya eri abantu abaliko obulemu bw’obutawulira abakozesa olulimi lw’obubonero, gav’t nga eyita mu Uganda communication Commission abatwala eby’empuliziganya mu ggwanga baalagira buli mukutu gwa TV okubeera n’omutaputa w’olulimi luno abantu bano nabo basobole okumanya ebigenda mu maaso mu ggwanga. Kati nga Agafa Eyo gajjaguza okuweza emyaka 5 nga gakyusa obulamu bw’abannayuganda twogeddeko n’abantu bano bememulaba nga bakozesa obuli obw’obubonero okumanya nabo byebayiseemu emyaka gyino n’engeri obulamu bw’abantu bebaweereza nabo kenyini engeri gyebukyusiddwamu.