Enteekateeka z'okulamaga e Namugongo ku ludda lw'abakulisitaayo
Amangu ddala ng’amawulire g’okukulemberamu okulamaga e Namugongo gagdde mi matu g’obulabirizi bwa Rwenzori, Bwatandikirawo okusala amagezi butya bwebaali bagenda okuddukanyamu enteekateeka eno okukira ku bulabirizi obulala bwonna obuzze butegeka.
Webutuukidde olwaleero nga ebisinga biwedde newankubadde wakyaliwo okusoomoozebwa naddala mu by’ensimbi.