Gav’t entandise ku nteekateeka z’okuzimbira abantu abaakosebwa kasasiro w’e Kiteezi
Minisitule evunaanyizibwa ku by’ettaka n’amayumba nga eri wamu ne KCCA baleese ekiteeso ewa Ssaabaminisita wa Uganda, Robinah Nabbanja, okuzimbira abantu enyumba abayonoonebwa ebintu byabwe kasasiro bweyayiigulukuka e Kiteezi omwaka oguwedde. Singa kino kiteekebwa mu nkola, gavumenti yakusaasanya obuwumbi 84 okuzimba enyumba ey’ebisenge 3 oba obuwumbi 77 okubazimbira ey’ebisenge ebibiri.