Gen. Kahinda Otafiire awadde poliisi amagezi ku nsonga za NUP
Minisita w’ensonga z’omunda mu gwanga atwala ne poliisi Gen. Kahinda Otafiire awadde poliisi amagezi obutaddamu kulemesa bibiina ebiri ku ludda oluvuganya gav’t okugenda mu maaso n’enteekateeka zaabyo.
Ono agamba poliisi erina kukwata bamenyi b’amateeka sosi kutangira bibiina kukola mirimu gyabyo.
Okwogera bino nga poliisi olunaku lw’eggulo yasisinkanye bannakibiina ki NUP okusala amagezi okukomya obukuubagano mweyafulumiriza n’ebiragiro byeyagala bannakibiina kino okugoberera.