Joel Ssenyonyi alambuluddde ku byaliwo mu kuziika omubaka Muhammad Ssegirinya
Oluvannyuma lw’abantu okwemulugunya ku ngeri ekibiina ki NUP gyekyakuttemu okuziika kw’omubaka Muhammad Ssegirinya, akulira ababaka ba palamenti ab’oludda oluvuganya gav’t Joel Ssenyonyi aliko byalambuludde. Ono agamba abaali bategese ekifo ekirala kyebaali baagala okutwalamu omulambo gw’omugenzi tebasooka kwogerezeganya na kibiina ekibadde kitwala omugenzi ekibadde mu nteekateeka zonna wabula bbo nebaagala okugweddiza mukaseera akasembayo. Agamba guno gwali mupango gwa muntu omu.