Kyagulanyi SSentamu asabye abavubuka okwenyigira mu by’obufuzi
Akulira ekibiina ki Nup Robert Kyagulanyi SSentamu asabye abavubuka okusitukiramu beenyigira mu by’obufuzi nti olwo lwebanaasobola okutwala eggwanga mu amaaso. Kyagulanyi agamba abavubuka bangi ate abasomyeko abatayagala kwenyigira mu nkyuka kyuka olwo nebaleka abantu abatalina busobozi okwesimbawo. Ategeezezza nga Nup bweri eneetegefu okukwatagana nebiwayi byona ebiyaayaanira okukyusa egwanga.