Okutaasa ettaka ly'amasiro mu Buganda: Abalangira n'abambejja batandise okugalambula
Abalangira n’abambejja abasibuka mu ba Ssekabaka ab’enjawulo balaze obwennyamivu eri banaalinnya b'amasiro abakwasibwa obuyinza okukuuma n'okulabirira Amasiro, kyokka nebadda mu kutunda ettaka lye baalina okukuuma.
Okwogera bino babadde bagenze okulambula amasiro agali mu ssaza ly'ebusiro gye bakizuulidde nga lingi ku ttaka litundiddwa bannalinya bennyini. Baweze okukola ekisoboka okulaba nga banunula ettaka lino.