Abasawo 20 abekikwangala bayooleddwa mu kikwekweto
Abantu abasukka mu 20 be bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa Poliisi n'ekibiina ekigatta abakugu mu byobulamu ekiyitibwa ki Allied Health Professionals e Masaka nga balangibwa kukola mulimu gwe batalinaamu bukugu bwetaagisa. Waliwo n'obulwaliro ssaako obuduuka bweddagala obuggaddwa nga kizuuse nti tebutuukana na mutindo gwetaagisa.