Enjuki zikendedde e Bushenyi, abalimi baayo beeraliikiridde
Obweraliikirivu bweyongedde mu balunzi b’enjuki n’abalimi, olw’omuwendo gw’enjuki ogugenda nga gukendeera mu disitulikiti y’e Bushenyi. Enjuki kyekimu ku biwuka ebisiinga okuba eby’omugaso nga zikola kinene nnyo mu kukwasa ekimuli ky’ebirime naddala emmwanyi nezisobola okubala obuluungi, kyoyinza okuyita okuwakisa singa tubadde twogera ku bisolo. Wabula olw’omuwendo gwazo okukendeera, kiretedde abalimi okweralikirira nti amakungula gandikendeera. Abakugu bagamba nti eddagala eritta ebiwuka, erikozesewa ku kulima n’enkyukakyuuka y’embeera y’obudde kyekimu ku bivuddeko enkuji okubula.