Maama ne muwalawe bakubiddwa amasannyalaze e Kamuli
Abantu babiri bafiiriddewo oluvannyuma lw’okukubwa amasannyalaze ku kyalo Buduli mu ggombolola ye Nabwigulu e Kamuli. Tapenensi Kyaliki ow’emyaka 52 yasoose okukubwa amasanyalaze bwabadde ayanika engoye ku waya olwo muwala we Manjeri Naigaga bwazze okumutaasa naye negamukuba okukakkana nga bombi bafu. Ab’ekitongole kyamasannyalaze ki UMEME bagamba balinze alipoota ya Poliisi okumanya embeera eno kweyavudde.