Okutuusa empeereza enungi ku bantu: Loodi Meeya akoze enkyuukakyuuka mu lukiiko lwe
Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago akoze enkyukakyuka mu bantu bakulembera nabo ekibuga Kampala.Ono agamba akikoze okusobola okunyweza enkola y’emirimu mu kibuga Kampala.Bino loodi meeya abitegeezeza olukiiko lwa bakansala olutudde olwaleero era omulondeddwa obukiiko obupya obugenda okuddukanya emirimu gya kanso okumala omwaka mulamba.