Okwetegekera amatikkira ga 31: Kabaka by'akoze mu byenjigiriza
Obwakabaka bwa Buganda bulina entekateeka ey’okubunya amasomero g’oBwakabaka mu buli ssaza, kino kiyambeko okukendeeza ku muwendo gw’abaana abakeera okutuula awaka.Owek.Cotild Nakate Kikomeko Minisitule y’e Nkulakulana y’abantu atubuulidde nti mu ntekateeka eno mulimu namasomero ga Nassale ,nga mu ntekateeka eno buli mbuga ya ssaza yakuzimbwako essomero ku mutenedera guno.Bino biggidde mu kaseera nga Buganda eri mu keterekekero ka kujjukira nga bwegiweze emyaka 31 bukyanga ssabasajja kabaka atuula ku Namundo mu mwaka 1993.