Okwetegekera okulonda kwa 2026: Akakiiko ky'eby'okulonda kafulumizza ennongoosereza
Akakiiko k’eby’okulonda kaliko enteekateka y'oby’okulonda ennongooseemu gyekafulumizza mu kwetegekera akalulu kabonna aka 2026. Mu nteekateeka eno akakiiko era kalangiridde nga bwekagenda okuddamu okulamba n'okutereeza ebifo awalonderwa. Ssentebe w’akakiiko kano, Simon Byabakama alabudde ku ky’okwongera okutondawo ebyalo ebirala, ng'agamba nti akakiiko tekalina nsimbi zaakuddamu kutondawo bifo awalonderwa birala.