Poliisi etegeezezza nga bweyanywezezza edda ebyókwerinda
Poliisi etegeezezza nga bweyanywezezza edda ebyókwerinda, mũ kaseera kano nga abantu bateekateeka okuyingira omwaka omujja. Wano wesinzidde neerabula abantu obuteenyigira mu bumenyi bwámateeka, nti yenna anaakwatibwa kaakumujjuutuka. Kati nga abantu bali mu keetereekerero, Jennifer Kabaale atuuseeko mu bifo eby’enjawulo awategekeddwa ebivvulu wamu n’okusaba okw’okuuyita mu mwaka nga yonna enteekateeka ziri mu giya y’amaanyi.