UBOS: Bannayuganda beeyongedde okuwangala
Kikakasiddwa nga bannayuganda bwebeeyongedde okuwangaala bwogerageranya ku myaka egyayita nga kino kizuuliddwa mu kubala abantu okwakakkomekerezebwa gyebuvuddeko. Okusinziira ku kitongole ky’ebibalo mu ggwanga ki Uganda Beaural Of Statistics (UBOS) omuwendo gw’abantu abawangaala okusukka emyaka 60 beeyongedde. Kino bagamba nti kivudde ku bya bulamu okwongera okulongoosebwa mu ggwanga - Olwaleero banjudde ebyenkomeredde ebyava mu kubala abantu okwakakomekkerezebwa.