Waliwo banna NRM abawanduse mu lwokaano lw’abavuganya ku bifo ku lukiiko olufuzi olwa CEC mu kusunsulwa okwabaddewo ku Lwokusatu ne ku Lwokuna nga muno mwe mwabadde n’omu ku baganda b’omukulembeze w’eggwanga Shadrack Nzaire abadde avuganya ku ky’amyuka ssentebe w’ekibiina mu bugwanjubwa bwa Uganda. Abaasigadde mu lwokaano bongedde okukunga obuwagizi mu bakiise nga bagamba nti bebasanidde Raymond Tamale ayogeddeko n’abamu ku bbo.