Abantu 4 bafiiridde mu mataba g’enkuba etonnye mu Kampala

Olive Nabiryo
0 Min Read

Abantu bana bafiiridde mu nkuba efudembye amakya ga leero mu kibuga Kampala, nga eno evuddeko amazzi okwanjaala mu Kampala kko n’ebitundu ebiriranyeewo.

 Abafudde babadde mu Kisenyi mu kitundu ekimanyiddwa nga Kumbuzi, nga bano babadde bavubuka wakati w’emyaka 16 ku 23.

 Poliisi etubuulidde nti bano babadde baana abasula ku nguudo, amazzi bwe gabooze ne gabawalawala okutuuka mu mwala.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *