Akwatidde ekibiina ki National Unity Platform bendera mu kuvuganya ku kifo kya Pulezidenti Robert Kyagulanyi abuulidde abantu b’e Mityana nti balonde abo abawandibwako eddusu ekibiina so ssi abo abeefananyiriza. Kyagulanyi bino abyogeredde mu nkungana zaakubye e Mityana mu kaweefube gwalimu okumatiza abalonzi nti yagwanidde okufuuka Pulezidenti wa Uganda mu mwaka 2026. Kyokka atataaganyiziddwa nnyo ekire ky’enkuba efudembye, ekiviiriddeko amakubo okwonooneka.
Kyagulanyi ab’e Mityana abasabye balonde abo ekibiina be kyawadde kkaadi
0 Min Read
Leave a review
Trending News
Recent Updates
No posts found