Okumala emyaka, president Yoweri Museveni n’ekibiina ki NRM bazze beeyambisa Manifesto ez’enjawulo okulaga nga Uganda ey’enkya bweyinza okufaanana singa bannayuganda basigala nga babayiira akalulu.Okuva mu 1996, NRM ebadde ejja mu buli kalulu etegeka ebigambo kw’enetambuliza kampeyini kyokka webutuukidde olwaleero nga bangi bagamba nti Manifesto ya NRM tekyuka wabula kyafuuka kiwandiiko-buwandiiko kwe basinziira okudyakadyekera bannansi.Katwetegereze Manifesto zino nga bwezizze zitambula okumala emyaka.