Enkya ya leero abamu ku basuubizi mu kampala bakedde kuggala maduuka gaabwe nga beemulugunya ku gavumenti obutafaayo ku nsonga ezizze zibabobbya omutwe. Bano okusinga bawakanya ekyokukkiriza abatembeeyi okwetaayiza mu kibuga ate nga tebawa musolo, okubasolooza omusolo ku ngoye nga basinziira ku kilo, kko n’ebirara. Kati bano baweze nti tebagenda kuggulawo okujjako nga bafunye okwanukula okumatiza okuva eri gavumenti.
Leero abasuubuzi bazzeemu akeediimo, baggadde amaduuka mu Kampala
0 Min Read
Leave a review
Trending News
Recent Updates
No posts found
